
Monday Dec 07, 2020
In The City Where the Lamb is the Light-LUGANDA
Waliyo ensi emitala w'emmunnyeenye,
Waliyo ekibuga etabeera kiro;
Bwe tuba abeesigwa tuligenda eyo,
Mu kibuga Ye nga kye kitangaala.
Chorus
Mu kibuga Ye kye kitangaala,
Mu kibuga etabeera na kiro;
Nina ennyumba yange eyo, nga mpangudde ebizibu,
Ngenda eyo Yesu nga kye kitangaala.
Wano tulina ennaku ez'omusana,
Tumanyi zinafuuka ez'ebire,
N'enkuba nga ffe tetunava wano,
Okugenda eyo Ye nga kye kitangaala.
Ebimuli eyo bikula era olunaku
Lwa lubeerera omutali na kiro;
N'amaziga gaffe galisangulwa,
Mu kibuga Ye nga kye kitangala.
Bulijjo tufuna ebinakuwaza,
Nga ebirwanyisa essuubi lyaffe bingi;
Yadde tukaaba, tuliba n'essanyu,
Mu kibuga Ye nga kye kitangaala.
Ng'enjuba teri ng'enzikiza ekutte,
Mmeeme yange tetye nzikiza yonna;
Kuba mmanyi mu Ggulu eriyo ekifo,
Mu kibuga Ye nga kye kitangaala.
Comments (0)
To leave or reply to comments, please download free Podbean or
No Comments
To leave or reply to comments,
please download free Podbean App.